Abatuuze okuva ku byalo ebyenjawulo mu district ye Bukomansimbi n’abamu bavudde mu district ye Kalungu beyiwa kukyalo Busaggula e Kigangazzi mu district ye Bukomansimbi,okwerolera ku muti ogwebyafaayo ogugaambibwa nti gwali gwagwa okumala ekuseera nti kati gwazeemu negwesimba.
Omuti gw’Omutuba ogusomboola abantu guli mu kibanja kya Mzee Mukalazi e Busaggula,nga kigambibwa nti gwagwa ku ttaka emyaka 5 ejiyise era bangi babadde bagusenyaako enku nebazifumbisa.
Abamu ku batuuze bagamba nti omuti guno gw’amagero, era basazeeewo okugutonera ensimbi, abalala batemako ebibajjo okubyetwalira nti ddagala ate abalala batute kuttaka ly’omuti guno nti nalyo lyandiba ddagala.
Ssentebe wa Kigangazi Town Council Salongo Kawuma Yasin alabudde abatuuze okubeera ewala n’omuti guno nti kubanga tebamanyi kyagusitudde wansi, nti kubanga kiyinza okuguzaawo negukuba abantu.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak Junior