Bya Issah Kimbugwe
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA nga kiyita mu kakiiko ka FUFA Competitions Disciplinary Committeee, kitanzizza omutendesi wa club ya SC Villa Jogo Salongo, Petros Koukouras ensimbi obukadde 2, yamenya amateeka agaddukanya omupiira.
FUFA evunaana Petros Koukouras okukozesa obubonero obutali bwamupiira eri abawagizi ba club ya Wakiso Giants bwe baali battunka mu Uganda Premier League, nga 30 March, 2022 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu.
Mu mupiira guno, omutendesi Petros Koukouras yagobwa ku kisaawe kyokka bweyali afuluma, yakozesa obubonero obuweebuula abawagizi ba Wakiso Giants.
Kino kyavirako abawagizi okutandika okukasuka ebintu mu kisaawe.
Omupiira ogwo SC Villa Jogo Salongo yaguwangula goolo 2-1.
Omutendesi ono era alumirizibwa okusamba omupiira ogwókubiri neguyingira mu kisaawe ng’alaga obutali bumativu.