Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye omuyimbi Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso amuyimbiremu, ku mazaalibwe ge agémyaka 68.
Pallaso yoomu ku banntu abetabye ku mazaalibwa gé Mpalabwa, era omukolo gubadde gunatera okuggwa, Kabaka násiima amuyimbiremu.
Kabaka agambye nti Pallaso alina ennyimba ezimunyumira era aziwuliriza nnyo ngákola dduyiro.
Pallaso wakati mu ssanyu eringi avuddeyo gyábadde atudde nátuuka ewÓmutanda ngáyavula námukwatako mu ngalo.
Ayimbidde omuteregga ennyimba 2, asoose kuyimba oluyimba oluyitibwa “NSABA” názaako olwa “ÁMAZAALIBWA AMALUNGI” .