Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Matale mu gombolola ya Buikwe Rural bwe basanze omusomesa w’esomero lya St Peters Matale Church of Uganda Primary School nga yafiira mu nnyumba.
Omusomesa abadde amaze ennaku nga takyalabika, abatuuze batandise kuwulira kivundu nga kiva mu nnyumba kwekusalawo okulingizaamu bagudde ku mulambo.
Nsubuga Joshua omu ku batuuze agambye nti omusomesa ono enzaalwa y’ePallisa, abadde yakomawo okuva mu luwummula era nga ku nnyumba z’abasomesa mu kiseera kino abadde asulako yekka olwa banne okuba nga babadde tebanadda.
Police etuuse nemenya enju n’eggyayo omulambo,gutwaliddwa mu ddwaliro e Kawolo okwongera okugwekebejja.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis