Police mu Kampala n’emiriraano ekutte omusomesa agambibwa nti abadde agenda kujjula ebitanajja ku muyizi w’esomero gw’asomesa ow’emyaka 15 egy’obukulu.
Omukwate ye Kato John Ssenfuma myaka 40 egy’obukulu omutuuze we Mukono, ng’abadde musomesa musomero eritaatuukiriziddwa mannya wabula nga lisangibwa mu district ye Mityana.
Akwatiddwa police ye Kanyanya oluvanyuma lwomu kubabeera n’omwana ng’ategerekese nga Sheila myaka 26 omutuuze we Kyebando mu gombolola ye Kawempe okutwala omusango ku police.
Sheila abuulidde police nti basoose kulumika obubaka obubadde buwaanyisiganyizibwa wakati w’omwana ono n’omusomesa nga bayita ku mukutu gwa Whatsapp.
Sheila agambye nti oluvannyuma lw’ababiri bano okwogerazeganya, bakkiriziganya nti omusomesa agende mu maka g’abazadde b’omwana gy’aba amusisinkana.
Ng’ennaku z’omwezi 13 January,kigambibwa nti omusomesa yessa mu ddene n’agenda mu maka g’abazadde b’omwana, wabula yasanga bamwetegekedde olw’emboozi gyebaali balumise baatemya ku bakuuma ddembe abajja nebamukwata.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti omusomesa ono akyakuumibwa mu kaduukulu kaayo, ng’ okunoonyereza ku nsonga rno bwekugenda mu maaso.#