Omusirikale w’amakomera akwatiddwa ku bigambibwa nti yalagajjalira omulimu gwe, ekyaviirako abamenyi bamateeka okulumba ekkomera lya government erye Kibuku mu district ye Mbale nebanyaga emmundu 4.
Wabaddewo obunkenke mu kitongole ky’amakomera wiiki ewedde, oluvanyuma lw’abantu abataategerekeka okumenya ekifo awaterekebwa emmundu ekya Kikube Armoury erisangibwa mu district ye Mbale, ne bakuuliita n’emmundu ekika kya AK -47 ziri 4 n’amasasi 116.
Ekitongole ky’amakomera nga kiyambibwako ebitongole ebirala byakola ekikwekweto nebazuula ebyali bibbiddwa byonna.
Okusinzira ku mwogezi wa makomera Frank Baine, omusirikale akwatiddwa wakuyambako ebitongole ebikuuma ddembe okukola okunonyereza okwannamaddala okumanya ekyaliwo, n’okukiziyiza obutaddamu kubeerawo.
Gyebuvuddeko ekomera lya Government e Moroto lyamenyebwa era emundu 14 abazigu ne bakuuliita nazo, ekyawaliriza ekitongole ekyo okusaawo akakadde ka shs kalamba n’ekitundu (1.5m) okuziwa omuntu anaabayamba okuzuula abaabba emmundu ezo, wabula tebazuulibwanga.#