Akulira eby’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kagadi nga ye George Kyuma asangiddwa ng’afiiridde mu nju.
Abadde asula mu barracks ya CPS e Kagadi.
OC CID Assistant Inspector of Police George Kyuma asangiddwa nkya ya leero nga zembuyaga ezikunta,wabula nga kigambibwa nti abadde n’ekirwadde ekimumazeeko ebbanga nga kiyinza okuba nga kyekimusse.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Muttanzige ASP Julius Allan Hakiza agambye nti omulambo gujjiddwa mu barracks negutwalibwa mu ggwanika e Kagadi,ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso
Zzo enteekateeka zokumuzza ku butaka mu Busoga nazo zitandise.