Omusirikale wa Military Police Corporal Andebo Collins akubye muganzi we Atulinda Peroni amasasi agamusse naye neyetta.
Kigambibwa nti Corporal Andebo abadde akolera mu nkambi ya Millitary police e Makindye ne muganziwe Atulinda Peroni naye abadde akola emirimu egya bulijjo mu nkambi yeemu, baali babeera mu Lusaka Zone e Makindye nebafuna obutakaanya nebaawukana, omukyala neyepangisiza ennyumba.
Abeerabiddeko ng’ettemu lino libaawo bategeezezza nti Atulinda abadde akedde kugenda kukola, Andebo n’amusaangiriza ku siteegi ya bodaboda n’amukuba amasasi, erimu nerimubetenta omukono.
Corporal Andebo olulabye ng’omukazi agudde eri naye kwekwekuba amasasi naafiirawo.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti Atulinda Peroni afudde nga yakatuusibwa mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde addusiddwa.