Embeera yakayisanyo mu district ye Kasese emirimu egyisinga obungi giyimiriziddwa, ng’abaayo baaniriza omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbeera amaze ebbanga lya Myaka 7 nga takkirizibwa kulinnya ku ttaka ly’Obusinga.
Amagye.gaalumba Olubiri lw’Omusibga mu November 2016, abantu abasoba mu 100 nebattibwa, n’abalala nebakwatibwa wamu n’Omusinga Charles Wesley Mumbeere nebaggulwako emisango gy’obutujjju, okulya mu nsi olukwe n’ebirala.
Omusinga kooti yamuyimbula ku kakalu kaayo, wabula okuva olwo abaddr eyagaanibwa okudda mu kitundu kye, era nga yali takkirizibwa kusala district ye Wakiso ne Kampala.
Gyebuvuddeko government yalangirira nga bweyali ewadde Omusinga ekisonyiwo era n’akkirizibwa okudda mu Businga bwe.
Abantu bakwatiridde ku nguudo e Kasese kwosa okuyisa ebivvulu ebyaniriza Omusinga.
Mu mbeera eno ey’okwaniriza omusinga omubaka wa palamenti owa Busongola South Thembo Gideon Mujungu era nga ye ssentebe w’akabondo kababaka ba NRM abava e Kasese ,agambye nti ng’ekitundu bafunye ebinuubule ng’okudda kw’omusinga kwakufuuka entabiro y’okutabagana.
Mujungu agambye nti ebibadde biremesezza Kasese okutereera bwebutabaawo bw’omukulembeze wabwe ow’ennono.
Omubaka wa Busongola North Sowedi Kitanywa,agambye nti waliwo obutakwatagana bungi e Kasese n’obusungu mu bantu naye bulina okuvaawo kasese atereere, oluvannyuma lw’okudda kw’Omusinga.