Kooti ejulirwamu esazeewo nti omusawo w’ekinnansi eyabuzaawo omwana wa mulirwana ow’emyaka 2 n’amukolerako ebyawongo, okusibwa mu kkomera obulamu bwonna.
Bino byali ku kyalo Namiyaga mu district ye Rakai mu July 2008.
Mu mwezi gwa March kooti enkulu eyatuula e Masaka ng’ekulirwa omulamuzi Justice John Eudes Keitirima yasingisa Stephen Wasswa omusango gw’okuwamba omwana eyali ow’emyaka 2 n’ekigendererwa eky’okumusaddaaka.
Kooti yamusalira ekibonerezo kyakwebaka mu nkomyo emyaka 45.
Obujulizi obwaleetebwa mu kooti bulaga nti Stephen Wasswa eyali omusawo w’ekinnansi yafuna obutakkaanya n’abaali baliraanwa be era bazadde b’omwana, oluvannyuma lw’okubateebereza nti baali bawadde enkoko ze obutwa.
Mu muyombo olwaddirira Wasswa yabasuubiza okubakola ekintu kyebalifa tebeerabidde.
Ekyaddirira ye mwana wabwe omuwala eyali ow’emyaka 2 okubuzibwawo ng’ennaku z’omwezi 19 July,2008, bweyali agoberedde banne abaali bagenze mu nnimiro okuloondererayo enku.
Abazadde baawaaba omusango ku police era n’etandikirawo omuyiggo, wabula omwana n’abula.
NObujulizi era bulaga nti wakayita ennaku ntono ng’omwana abuze, Stephen Wasswa eyali omusawo w’ekinnansi yasenguka ku kyalo tebaddamu kumulabako.
Nga wayise omwaka gumu n’ekitundu, ennaku z’omwezi zaali 19 December, 2009, waliwo abazirakisa abasanga ekkutiya ng’esibiddwa n’esuulibwa mu nsiko ku kyalo Njagala Kasaali
Ekkutiya eno yali evaamu eddoboozi eryali teritegeerekeka, okugyetegereza nga mulimu mwana yali tasobola kwekyusa wadde okwogera.
Bategeeza ab’obuyinza era n’atwalibwa mu ddwaliro okujanjabibwa.
Omwana ono baasaanga ekitundu ky’olulimi lwe kyasalibwa nga kyasigala kitundu, amannyo gaakulwamu,enjala z’engalo n’ebigere nga nazo zaakulwamu, n’ebitundu by’ekyama nga byonna byataagulwataagulwa.
Omwana ng’atwaliddwa mu ddwaliro, kigambibwa nti Stephen Wasswa yagendayo n’amulambulako akaseera katono neyemulula n’abulawo.
Ebirango byatandika okuyisibwa ku radio nga biranga omwana eyali azuuliddwa, era mu bajja okumulaba mwemwajjira n’ennyina w’omwana eyakakasa nti yali mwana we eyabula omwaka mulamba n’ekitundu ogwali guyiseewo.
Abantu abaali mu ddwaliro nga bajanjaba omwana, baali betegereza Stephen Wasswa , era bwebannyonyola enkula ye, nnyina w’omwana n’ategeera nti ye musawo w’ekinnansi eyali muliraanwa.
Police yatandika okumugigga era n’emuzuula n’emuggulako omusango gw’okuwamba omwana n’ekigendererwa eky’okumusaddaaka, era kooti nemusingisa omusango mu 2017 n’ekibonerezk kya myaka 45.
Omwana wadde yafuna obujanjabi naye yasigala agongobadde, tasobola kweriisa, okwekyusa wadde okwekolera ekintu kyonna, era mu kiseera kino alabirirwa amaka agalabirira abaana aga Kyampisi Children’s Home.
Stephen Wasswa yajulira ku kibonerezo eky’okusibwa emyaka 45 ng’ayagala bamukeendeerezeeko, era ssaabawaabi wa government omusango n’agwezza era n’asaba ekibonerezo kyongerweko.
Wabula abalamuzi 3 aba kooti ejulirwamu abakulembeddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera, balabye embeera omwana gy’alimu nga bayita ku katambi akaakwatiddwa.
Bakkiriziganyizza ne Ssaabawaabi wa government nebasalawo nti Stephen Wasswa asibwe mu kkomera obulamu bwe bwonna.
Ng’emu ku nteekateeka y’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’omwana ono, wofiisi ya Ssaabaqaabi wa government ng’eri wamu ne
Kyampisi Children’s home bategese olukungaana olw’enjawulo n’ekivvulu ekituumiddwa “HOPE GALA” ekigenderera okumanyisa abantu ku kabi akakwata ku kisaddaaka baana n’okuzzaamu essuubi abaana ababeera basimattuse ku mulamwa ” Healing the scars”.
Bisakiddwa: Betty Zziwa