Omulamuzi wa Kooti enkulu e Kiboga Joson Karmire awadde ennaku z’omwezi nga 13-December,2023 okuddamu okuwulira omusango gw’abatuuze abasukka mu 1000 abalumiriza ekitongole ekivunanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority okwonoona ebirime byabwe n’e nnyumba nga babalanga okwesenza ku ttaka ly’ebibira.
Kigambibwa nti abakozi mu kitongole kya National Forestry Authority NFA mu district ye Kyankwanzi ne Kiboga mu Ssaza Singo ku byalo okuli Kitwala ne Kyamuteete , mu gombolola ya Muwanji bakkakana ku mmere y’abatuuze nebagisaawa.
Abatuuze bagamba nti byaliwo nga 25 January,2023, nga byebaasaawa byali ku yiika eziwera 7008 ,okwali ebirime; ebitooke, emmwanyi emiyembe ,Kasooli, n’okusuula ennyumba mwebaali basula.
Swangon Musitafa munnamateeka w’abatauuze abemulugunya ateegezeza nti nga 13 December,2023 bwakwongera okuleeta abajulizi abalala okulabanga bafuna obwenkanya.
Bisakiddwa: Nakato Janefer