Omusirikale wa police abadde asula mu nkambi ye Ntinda mu Kampala abadde yawummula akubiddwa amasanyalaze agamutiddewo bw’abadde agezaako okutaasa abaana be.
Akubiddwa amasanyalaze ye AIP Oulanya Christopher, kigambibwa nti abaana be babiri bebasoose okukubwa amasanyalaze nayanguwa okubatasa, kwekukwata ku waya nga talina kintu kyonna negamukuba n’afiirawo.
Abaana babadde ataasa bawonye.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agambye nti omulambo gwa Oulanya gugiddwayo negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebeggyebwa.#