Wabaddewo obunkenke mu basirikale ba police mu Nkambi ya Jinja Road mu Kampala,omusirikale akutte emmundu n’asindirira musirikale munne amasasi agamuttiddewo.
Omusirikale ategerekeseko erya Ogwanga ali ku ddaala lya Assistant Inspector of Police, akolera mu kitongole kya Police ekirwanyisa obutujju ekya Counter Terrorism Police, y’asse musirikale munne Corporal Atino Jennipher, abadde akolera mu kitongole kya Police ekikuuma abakulu[VIPPU].
Omwogezi wa Police mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango ategezezza nti ababiri bano babadde baagalana, wabula ekibagudde omusajja okutta omukazi tekinategerekeka.
Bisakiddwa: Ssebuliba William