Police ekutte omusirikale waayo akulira eby’obuvubi mu district ye Nakaseke n’omukuumi we ku bigambibwa nti baliko omuntu gwebaatulugunya ekyamuviriddeko okufa.
Akulira ebyobuvubi akwatiddwa ye Mpata Edimon nomukuumi we Sunday Gesa, nga kigambibwa nti bakwata Alex Genyi myaka 20 ne bamusibira mu maka ga Mpata Edimon ne bamukuba okutuusa lweyafa.
Omwogezi wa police ye ggwanga Fred Enanga agambye nti byebaakanoonyereza biraga nti omusirikale waayo Mpata Edimon, oluvanyuma lwokutegera nti Alex Genyi yali afudde, bamussa mu mmotoka nebamusuula ku kkubo.
Wabula waliwo omutuuze eyabalabye natemya ku bakuuma ddembe abasitukiddemu ne bakwata akulira ebyobuvubi e Nakaseke Mpata annyonyole.
Police evumiridde ekyabasirikale babwe okwenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu. #