Police erwanye bwezizingirire okuzikiza omuliro ogubadde guzzeemu okukwata ku ntuumu ya Kasasiro eye Kiteezi mu Kasangati Town Council mu district ye Wakiso.

Omuliro gwegumu gwakwata mu February 2025, kati guzzeemu okukwata ekiro kya nga 17 June,2025.
Ekifo kino kyayimirizibwa okuyiibwamu kasasiro mu August 2024, oluvannyuma lw’entuumu ya Kasasiro eyali ayiibwa mu kitundu ekyo okubuumbulukuka naziika amayumba, abantu abasoba 35 nebafiiramu.
Minister omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ne ssenkulu wa KCCA Hajati Sharifah Buzeki badduse zaambwa okutuuka e Kiteezi okusalira awamu amagezi.

Bakubirizza abantu abaliraanyeewo okubeera ku bwerinde, singa omuliro guddamu okubalukawo obutabakosa.
N’okutuusa kati KCCA akyadooba n’e kasasiro enkumu akunganyiizibwa mu kibuga Kampala, nga tefunaanga kifo kyankomeredde gyeyiwa kasasiro, wadde mu kiseera kino ekyamutwalako e Buyala ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.#