Omuliro gusanyizaawo amadduuka námayumba g’abantu agasulwamu e Namungoona ku Luyinja, mu Lubaga municipality.
Kiteeberezebwa okuba ngómuliro guvudde ku masannyalaze.
Amaduuka Agasinze okukosebwa kuliko erya hardware,eritunda amata, néritunda ebintu bya bulijjo.
Wabaddewo akalippagano kébidduka olwóluguudo lwe Namungoona okuggalwa,ngébimmotoka ebizikiza omuliro ebisoba mu bitaano nga bireeteddwa okuzikiza omuliro guno, wabula bisaanze ebintu ebisinga bifuuse muyonga.
Abantu ababeera mu mayumba agali okumpi newakutte omuliro balabiddwako nga basengula ebintu byabwe mu mayumba, nga batya nti gubadde guyinza okusaasaanira amayumba amalala.