Abaserikale ku police ye Lwakhakha ku nsalo ya Uganda ne Kenya babunye emiwabo, oluvannyuma lw’Omuliro okukwata container omubadde ebiwandiiko ebyenjawulo byonna nebisaanawo.
Omuliro guno oguteeberezebwa okuba nga guvudde ku kukyankalana kw’Amasanyalaze gwokezza ebiwandiiko bya police y’ensi yonna Interpol nebisaanawo.
Ebimu ku bintu ebisanyeewo mubaddemu computer, ebyuma ebyokya empapula, Uniform z’abaserikale, n’ebiwandiiko byonna ebibadde mu police eno bisigadde muyonga.
Omu ku babaddewo Tugume Emmanuel ategeezezza nti omuliro guno gutandikidde mu kasolya ka container police eno mwebadde ekolera emirimu gyayo.
Omwoogezi wa police mu bendobendo lya Elgon Taitika Rogers , agambye nti okunoonyereza ku njega eno kutandise , okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro.
Bisakiddwa: Kato Denis