Omuliro gukutte omwalo gwe Nalyaazi mu ggombolola ye SSI-Bukunja mu district ye Buikwe gusaanyizaawo amayumba, amaato n’ebintu ebirala bingi ddala.
Omuliro gukutte mu kiro, wabula tewali muntu ateeberezebwa okuba nti afiiriddemu.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Musoke Kaboggoza ne Namwanje Lovisa akulira Abakyala bategezezza nti bateebereza omuliro gwandiba guvudde ku mutuuze munabwe abadde attuluula amafuta mu biddomolo okumpi ne ssigiri.
Ebintu omuli engine za amaato, amadduuka, sente enkaku ne ebintu bingi bisirisse.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher