Omuliro oguteeberezebwa okuba nga guvudde ku masannyalaze gukutte negusaanyawo ebbaala ya Okla Club esangibwa ku Old Kampala ebintu bya bukadde nabukadde bitokomose.
Ekifo ekiyidde kiri kumpi nómuzikiti gwa Old Kampala ogwa Gadaffi Mosque.
Omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango agambye nti ekifo kino kiddukanyizibwa Munnansi wa Eritrea ategeerekeseeko erya Binia, abategeezezza nti omuliro gutandikidde mu Fridge eziri mu kirabo ky’Emmere negusaasaanira ebintu ebirala byonna omuli nénsimbi enkalu.