Wabaddewo akasattiro mu kabuga ke Bulo mu district ye Butambala omuliro gusaanyizzaawo ekizimbe ky’amaduuka, ebintu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi nebisaanawo.
Ekizimbe kibaddeko amaduuka 4 n’ebisenge 4.
Omuliro ogwo gutandise ku ssaawa nga 7 ezomuttuntu nga gukutte kizimbe ky’omutuuze we Bulo ategerekese nga Hajat Aisha amanyiddwa ennyo nga Mirinda.
Abamu kubeerabiddeko nga bakulembeddwamu Ssalongo Ssempungu Kiyemba owe Bulo mu town bategeezezza Cbs nti Omuliro ogwo gutandikidde mu kisenge ky’emmanju ekyomutuuze ategeerekeseeko limu lyokka erya Ssebandeke, era ebintu bye byonna biweddewo.
Wabula bagamba nti omuliro wegutandikidde munju ya Ssebandeke tewabadde muntu era wabadde wasibe, nga bateebereza nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.
Oluvannyuma lwomuliro okutabuka olw’embuyaga ebadde ennyingi, gusaasaanye negukwata ebisenge ebirala era kino kiwalirizza abatuuze abaliraanyeewo okukasuka ebweru ebintu kyokka ebimu bibbiddwa mukavuyo.
Ekisinze okwewuunyisa, kwekuba ngobwedda buli batuuze bwebayiwa amazzi mu muliro ngaate gweyongera kutuntumuka olwembuyaga, era bawaliriziddwa okuyiwa ettaka mu muliro okutuusa bweguzikidde.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick