Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gukutte wofiisi za Ssaabalamuzi wa Uganda Alphonse Owiny Ddolo, ezisangibwa ku supreme court e Kololo.
Wofiisi zino zisangibwa ku mwaliro ogw’okubiri ogw’ekizimbe kya Supreme court, era zokka zezikutte omuliro.
Police fire brigade etuuse mangu okutaasa ekizimbe kyonna obutasaasanirwa muliro.
Omwogezi w’essiga eddamuzi Jameson Kalemani agambye nti tewali muntu yenna alumiziddwa.
Annyonyodde nti mu kiseera omuliro wegukwatidde ssaabalamuzi tabadde mu wofiisi eno eyoku supreme court, nti abadde mu wofiisi ye endala eri ku kitebe ky’essiga eddamuzi.
Kalemani agambye nti n’ebiwandiiko ebyonoonese bibadde bitono, nti kubanga ne fayiro teziterekebwa mu wofiisi eno.
Amazzi agayiiriddwa okuzikiza omuliro ku kizimbe gegokka agayiise mu bintu ebimu, naye ng’omuliro gukomye mu wofiisi ya Ssaabalamuzi.