Omuliro gukutte galagi y’emmotoka mu kitundu kye Masaka emmotoka 7, pikipiki 3 n’ebintu ebirala bisaanyeewo.
Galagi eno eyitibwa City Garage esangibwa mu district ye Lwengo.
Amyuka aduumira Police mu Greater Masaka era nga yakolanga ayogerera police mu kitundu ekyo Jamada Wandera agambye nti bakyanoonyereza nga balowooza nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze.
Wabula nannyini City Garage Nsamba fred nabadukirize abalala bagamba nti kirabika waliwo omuntu akumye omuliro ku garage eno, era nebavumirira ekya Police enzinnya mwotto okulwawo okutuuka.#
Bisakiddwa: Jjuuko Derick