Police y’abazinnya mwoto kyadaaki ezikizza omuliro ogubadde gukutte ekizimbe ky’ekitongole ekivunanyizibwa ku kutereka eddagala mu ggwanga ekya National Medical Stores (NMS).
Ekifo kino kibadde kikozesebwa okuterekebwamu obutimba bwensiri era kiteberezebwa nti obutimba obuwerako butokomokedde mu muliro guno.
Ayogerera ekitongole kya National Medical Stores, (NMS), Sheilla Nduhukire, agambye nti bakyanoonyereza ekiviriddeko omuliro, era nti ekifo kino kyabwannanyini naye nga government yali yakipangisa okuterekamu obutimba.
Bino bijjidde mu kiseera nga ministry y’eby’obulamu eri mu kawefube w’okugaba obutimba obulwanyisa omusujja gw’ensiri, ng’enteekateeka eno yatandikibwako myezi 3 ejiyise.
Uganda ekwata kyakusatu mu kuba n’omuwendo gwabantu abakwatibwa omusujja gwensiri buli mwaka, nga basoba mu bukadde 12 buli mwaka.
Ebiwandiiko biraga nti kubuli bantu 10 basatu babeera n’omusujja gw’ensiri.
Bisakiddwa: Ddungu Davis