Wabadewo akasatiro ku somero lya Kitebi senior Secondary school mu kiro, omuliro ogutanategerekeka kweguvudde bwegukutte ekisulo ky’abayizi nga bebase.
Essomero lisangibwa mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Abasomesa n’abayizi abalala bakozesezza obwangu okutaasa bannabwe ng’omuliro tegunasaasaana nnyo.
Kitegerekese nti emmotoka z’essomero zitandise okuddusa abayizi mu malwaliro okufuna obujanjabi ababadde bayisiddwa obubi olw’okutya kwebafunye, abatuuze webalabidde ekigenda mu maaso nebasitukiramu.
Abamu ku batuuze ababadde basitula abaana okubaddusa mu ddwaliro agambye nti abaana nga 15 bebaddusidwa mu malwaliro agali okumpi wabula oluvannyuma lw’okufuna obujanjabi obusookerwako basiibuddwa.
Mu kiseera kino abakulira esomero lino tebanabaako nakyebogera ku mbeera ebaddewo.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge