Omuliro gusanyiizaawo ekyuma ekikuba obuwunga e Nateete mu gombolola ye Lubaga mu Kampala ekya Kasawo grain millers okumpi n’ekizimbe kya Samona.
Ekivuddeko omuliro guno tekinategeerekeka.
Abaduukirize bagezezaako okukozesa amazzi okuguzikiza nga buteerere, era police wetuukidde ng’ebintu ebisinga bisanyeewo.
Wabula abamu ku badduukirize balabiddwako nga batwala ebimu ku bintu ebibaddewo naddala abavubuka abalonda sikulaapu.
Nannyini Kasawo grain millers Kalonda Simon agambye nti ebiyidde mubaddemu ebyuma, kasooli n’obuwunga obuwedde okukuba.
Bisakiddwa: Musisi John