Omuliro gukutte ekizimbe kya Techno Relief Services ku 7th Street Industrial area mu Kampala, omujiiridde ebibajje bya kampuni ya Nina Interiors.
Police etuuse mangu okutaasa ebizimbe ebirala ebiriraanyewo obutakwata muliro.
Kitutte essaawa ezisukka mu 7, nga police ekyalwanagana nagwo.
Wabula ng’ebintu ebyonooneddwa ku kizimbe ekikutte omuliro saako embaawo n’ebibajje bya Nina Interiors tebinamanyika muwendo.
Akulira ebikwekweto mu police ezikiriza omuliro Eric Walusimbi agambye nti embaawo ezibadde ziterekebwa mu kizimbe kino, zezisiinze okulwawo okuzikira era zezibaleetedde okutwala essaawa nnyingi okuzikira.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge