Omuliro ogutannamanyika kweguvudde gukutte ekisulo kyÁbayizi ku ssomero lya God’s Plan nursery and primary school Ndejje Makindye Ssaabagabo mu Wakiso gusaanyizaawo ebintu byÁbayizi byonna.
Omuliro guno ogukutte ku ssaaw anga 10 ez’Olweggulo , gugenze okutandika nga abayizi bali wabweeru wa kisulo kyaabwe bazannya, era temuli afiiriddemu.
Ebimu ku byonooneddwa mubaddemu Emifaliso gyÁbayizi , Case zaabwe, Ebitabo ne kalonda yenna, era poliisi ezikiriza Omuliro egenze okutuuka nga byonna bifuuse Muyonga.
Mu kiseera kino abazadde bayitiddwa okunona Abaana baabwe ku ssomero, nga embeera bwedda mu nteeko.#
Bisakiddwa: Kato Denis













