Kkooti enkulu ewozesa abalyake nábakenuzi eronze omulamuzi Jane Kajuga okuwulira okusaba kwa minister omubeezi owénsonga ze Kalamoja era omubaka omukyala owa District ye Buduuda Agnes Nanduttu, okwokweyimirirwa ku misango gyókubulankanya amabaati ge Kalamoja.
Omulamuzi Kajuga olulondeddwa ataddewo olwa 03 May, okuwulira okusaba kwa minister Nanduttu okweyimirirwa.
Nga 19th omwezi guno ogwa April Nanduttu yasindikibwa ku meere e Luzira, oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’okwezibika amabaati gábakalamoja 2000, agaali gaweereddwayo government n’geyita mu office ya sabaminister.
Kkooti ento teyasobola kuwulira kusaba kwe okweyimirirwa, kubanga omusango gwe gwali gusindikiddwa mu kkooti enkulu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam