Omulamuzi w’eddaala eryokubiri mu kkooti e Kayunga Kerichan Peter Prosper asindikiddwa ku alimanda, alangibwa kwezibika nsimbi obukadde bwa shilling za Uganda obusoba mu 400, ezaali ez’okuyamba bakaddebe.
Ensimbi ezizaalidde omulamuzi ebitukula zaali zakuliyirira bazaddebe abaali bannyini ttaka eryaweebwa eggye lya UPDF mu mwaka 2001.
Ensimbi zino zaali ziyisiddwa ku account y’omulamuzi ono esangibwa mu banka emu, ng’olwazifuna teyaziwa bannyinizo wadde nga baakimanya nti yazifuna.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza nti Omulamuzi ono amaze akaseera ng’abebyokwerinda bamulondoola oba ng’ensimbi ezo anaaziwa bannyinizo neyeerema, kwekumukwata n’atwalibwa mu kooti emusindise ku alimanda.#