Government kyaddaaki ekakasizza nti omulambo gw’abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanya gwakukomezebwawo kuno ku lwokutaano lwa wiiki eno nga 1st April,2022.
Jacob Oulanya yaffa ng’ennaku z’omwezi 20 march mu ddwaliro lya Washington University erya Seattle cancer care Alliance, erisangibwa mu kibuga Seattle ekya United states of America gyeyali eddusiddwa okujanjabibwa oluvannyuma lw’amalwaliro ga kuno okulemererwa.
Enteekateeka zokukomyawo kuno omulambo gwe zibadde zirimu amatankane n’okuteebereza.
Minister wensonga zobwa President era ssentebbe w’akakiiko akakola ku nteekateeka z’okuziika Jacob Oulanyah Milly Babalanda,atadde obubaka ku kibanja kye ekya Twiiter n’ategeeza nti gukomezebwawo ku lw’okutaano luno.
Minister Babalanda agambye nti bwegunaakomezebwawo kuno, enteekateeka yonna eyokuwerekera omugenzi yakugobererwa nga bweyasengekebwa, era wakujirambulula olunaku lw’enkya.