Omulambo gw’abadde Omubaka Omukyala owa district ye Dokolo Cecilia Barbra Atim OGWAL gukomezeddwawo mu ggwanga okuva e India.
Gutuusiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga zikunukkiriza okuwera essaawa omwenda ez’emisana.
Omulambo gwa Cecilia Ogwal gukwasiddwa sipiika wa parliament Anitah Annet Among, nga awerekeddwako Minister we byobulamu Dr Ruth A Cheng, Nampala wa government Hamson Obua, minister omubeezi ow’ebyemizanyo Peter Ogwang, abamu ku babaka ba parliament saako n’abenganda z’omugenzi.
Oluvanyuma gutwaluddwa kku ddwaliro ekkulu e Mulago abasawo okugwekebejja, n’oluvannyuma gutwalibwe mu maka ga A-plus.
Omugenzi Cecilia Ogwal yava mu bulamu bwensi ku Thursday nga 18 January,2024 mu India.
Omulambo guno gwakutwalibwa mu parliament ya Uganda nga 22 January,2024 ababaka bamukubeko eriiso evvanyuma, era wakubaawo n’olutuula olwenjawulo olugenda okutandika ku saawa mukaaga okusiima emirimu gy’omugenzi.
Omugenzi Cecilia Barbara Atim Ogwal yoomu ku babaka abaludde mu parliament nga bateeseza eggwanga.
Cecilia Ogwal yayingira parliament mu mwaka gwa 1996 okutuusa waffiiiridde nga yaabadde omubaka omukyala owa district ye Dokolo.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith