Obulabirizi bwe Luweero kyadaaki butuuzizza omulabirizi omuggya, Rt. Rev. Can. Wilson Kisekka, omukabirizi owookuna azze mu bigere by’Omulabirizi Elidad Kironde Nsubuga eyawummula.
Omukolo ogwokutuuza omulabirizi omuggya gukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, His Grace Samuel Stephen Kaziimba Mugalu, nga gwetabyeeko enkuyanja y’abakkiriza.
Bishop Kisekka asoose kukuba birayiro naakwasibwa n’amateeka g’ekkanisa gaalina okutambulirako mu buwerezabwe, era naye naawera okugagondera.
Mu bubakabwe obumusomeddwa minister w’ebyenguudo mu ggwanga Gen Edward Katumba Wamala, President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, agambye nti ekkanisa esaanidde okukolagana obulungi ne government okutumbula enkulakulana mu Uganda esaanidde.
President Museveni asuubizza okuwa omulabirizi omuggya emmotoka kapyata emuyambeko okutambuza emirimu, era amuweerezza ebbaasa ya bukadde bwa shs 50 ng’entandikwa y’okukola emirimu.
Owek Patrick Luwagga Mugumbule, omukubiriza woolukiko lwa Buganda, nga yaakiikiridde Katikkiro wa Buganda mu kusaba kuno, agambye nti kyekiseera obunkenke obwaliwo nga Bishop Elidad Nsubuga awummudde bukome, Luweero egende mu maaso.
Katikkiro asuubizza nti Obwakabaka bwakwongera enkolagana n’ekkanisa ya Uganda.
Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, kitaffe mu katonda The most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, atenderezza omulimu ogukoleddwa omulabirizi Ssebaggala okutebenkeza Luweero nasaba abakulisitaayo okusigala nga bali bumu.
Obunkenke buno bwaggyawo oluvannyuma lwa Can.Godfrey Kasana eyali alondeddwa olukiiko lw’abalabirizi okusikira Elidad Nsubuga okusazibwamu nga wabulayo nnaku bunaku atuuzibwe, abamu ku bakulisitaayo lwebeekubira enduulu nga bagamba nti yali tasaanidde era ensonga nebazituusa eri olukiiko olwamulonda nerumuyimiriza.
Ebyaddiri kubadde kusika muguwa era newavaayo ekiwayi ky’abakristqayo ekirala nga kiwakanya okuyimirizibwa kwa Kasana, era abamu nebagenda ne mu kooti nebawaabira ekanisa.
Abadde akuuma entebe eyomulabirizi we Luweero, Dr.James Ssebaggala okumala emyazi 8, agambye nti olutalo lwokutebenkeza emirembe mu Luweero lubaddemu okufungiza n’okuluma obugigi, nasaba abakristaayo okwewala enjawulo wabula batunuulire ekifaananyi ekinene ekitwala Luweero mu maaso.
Omulabirizi wa Central Buganda, Micheal Lubowa, nga yakulembeddemu okubuulira, asabye abakulisitaayo mu bulabirizi bwe Luweero okussa ebbali enkayana bakwatagane n’omulabirizi omuggya okuteekawo enkulakulana eyannama ddala.
Omulabirizi Rt Rev Wilson Kisekka, agambye nti essira agenda kulissa kukuzaawo obutonde bw’ensi obutaaguddwa mu kitundu, okutuumbula ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyenfuna n’okuzimba amatendekero agenjawulo mu bulabirizi buno.
Omukolo guno ogw’okutuuza bishop Wilson Kisekka gwetabye Omusumba wa klezia ow Kasana Luweero Bishop Lawrence Mukasa n’abantu abalala bangi ddala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis