Omulabirizza omuggya owe Namirembe Rt.Rev.Moses Bbanja atuuziddwa ng’omulabirizi owomukaaga ow’obulabirizi buno.
Omulabirizi awummudde Rt.Rev.Wilberforce Kityo Luwalira naye awummudde era ku mukolo gwe gumu naye awaddeyo obukulembeze bw’obulabirizi.
Omukolo gukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, His Grace Samuel Stephen Kazimba Mugalu.
Bishop Banja mu kusooka ayanjuddwa eri abantu abetabye ku mukolo, nga kikoleddwa omukuumi w’entebe y’omulabirizi bwe Luweero, Bishop Dr. James Ssebaggala n’omulabirizi we Nebbi, Bishop Pons Ozelle.
Oluvanyuma Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, amutikkidde ebitiibwa by’obulabirizi n’okumufalasira okukuuma ebyama bye kkanisa n’obutatiiririra buweereza.
Akwasiddwa omuggo ogwoleka obuyinza obumukwasiddwa okukulembera obulabirizi bwe Namirembe.
Atuuziddwa mu ntebe y’Obulabirizi bwe Namirembe emanyiddwa nga Cathedra.
Omulabirizi Moses Banja asuubizza okutumbula eby’obulamu, eby’enjigiriza, enkulakulana n’okukuuma ettaka ly’ekkanisa naddala ery’obulabirizi bwe Namirembe, era naasaba government okumukwasizaako mu lutalo luno.
Agambye nti buli kanisa yakufuba okulaba ng’ebeera ne project ezivaamu ensimbi ezisobola okuyimirizaawo ekanisa, nga kwotadde n’okwongera amaanyi kukutereeza embeera y’abaweereza mu kanisa.
Bishop Nathan Ayimbisibwe, okuva mu bulabirizi bwa South Ankole akulembeddemu okubuulira avumiridde emize egyeyongedde mu bakkiriza, era naakuutira omulabirizi omuggya okukolerera ennyo emirembe, n’okukwatagana n’abantu bonna.
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ayozayozezza omulabirizi omuggya ow’e Namirembe Rt Rev. Moses Banja, ne maama Prof Olivia Nassaka Banja, olw’okutuuka ku kkula ly’obulabirizi buno obukulu mu kkanisa ya Uganda.
Ssabasajja Kabaka abakuutidde okuba abavumu n’okulwanirira omuntu wabulijjo.
Omutanda obubaka bwe abutisse Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Maasomooji era atenderezza emirimu egikoleddwa omulabirizi awummudde Wilberforce Kityo Luwalira, gy’agambye nti gibadde gya ttendo era nga jirabwako.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asuubizza nti Obwakabaka bwakwongera okukolagana n’obulabirizi bwe Namirembe okutambuza emirimu egigasiza awamu abantu.
President Yoweri Kaguta Museveni obubakabwe abutisse omumyuka we Rtd Maj.Jesca Alupo, asabye abakkiriza okwongera amaanyi mu kukola bafune ennyingiza eyabuli lunaku, kibasobozese okuyimirizaawo amaka gabwe, n’obutalowoolereza mu government okubayamba buli kaseera.
Agambye nti abakkiriza mu kifo kyokuteekesa essira mu kunoonya mukama yekka, kisaanidde nokukola ennyo okunoonya obugagga.
Asanyukidde enkolagana ekkanisa gyerina ne government eyawakati ng’eyambyeko mu nkulakulana y’eggwanga, nti kuba ekanisa ejjumbidde okuzimba amasomero, amalwaliro, nebirala ebigasa abantu babulijjo.
President Museveni Omulabirizi omuggya amuwadde ekirabo ky’emmotoka kapyata kika kya Toyota Land cruiser.
President era atenderezza Omulabirizi awumudde Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, olw’obuvumu n’okwagala kwabadde nakwo eri enkulakulana ya Uganda.
Omukolo gw’okutuuza Omulabirizi Moses Banja gwetabiddwako abakungu bangi ddala.
waliwo abavudde mu government eyawakati neya Buganda.
Bannabyabufuzi n’abakulembeze b’ekanisa okuva mu bulabirizi obwenjawulo n’emitendera egitali gimu.#