Namungi w’omuntu yeyiye ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, so n’abalala bangi bakomye kukusimba nnyiriri tebasobodde kuyingira munda.
Essaawa zagenze okuwera bbiri ez’okumakya ng’ebiggwa byonna bijjudde abalamazi.
Ab’ebyokwerinda ababadde bakebera okulaba nga tewali ayingira na kissi kyonna, nabo bakoze butassa mukono wabula nebalemererwa okubamalawo, era okusaba kutuuse kuggwa ng’ennyiriri zikyakwatiridde.
Babalagidde okuddayo ewaka babirabire ku ntimbe za TV, so ng’abamu basazeewo kugenda mu bifo bisanyukirwamu ebibadde okumpi nebadda mu kwesiwa amagengere n’okweriira ku nnyama.
Okusaba kutandise ssaawa nnya ezokumakya ku biggwa byombi ekya Anglican n’eky’abakatuliki.
Abalamazi bebazizza Katonda olw’okusuusa ekirwadde kya Covid 19, ekisobozesezza abakkiriza okuddamu okulamaga ku biggwa by’abajulizi mu bungi.
Mu mwaka gwa 2020 ne 2021 tewaali kulamaga Namugongo olw’ekirwadde kya Covid 19, so nga 2022 waali wakyaliwo okutya kwekirwadde kino abantu abaalamaga baali batono.
Okulamaga kw’omwaka guno 2023 abalamazi babadde bangi ddala.
Abajulizi baali 23 Abakristaayo na 22 Abakatoliki abeewaayo ne battibwa ngábasinga baayokebwa bwokebwa, nga bafiirira eddiini, era nga bajjukirwa buli nga 03 June.
Omusumba w’Essaza lye Jinja era nga lyeritegese emikolo gy’ okulamaga kw’Omwaka guno Bishop Charles Martin Wamika yakulembeddemu missa ku kiggwa gy’abajulizi e Bulooli,ng’ayambibwako abasumba abalala.
Bishop Wamika asabye abantu ba Katonda okunyweeza okukkiriza, olwo babeerenga abajulizi abaafiira mu kukkiriza.
President Museveni okusaba kuno akuyisizza mu ssabaminister Robina Nabbanja Musafiiri mu kukuza olunaku lw’Abajulizi ba Uganda okubadde e Namugongo mu Wakiso.
Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asabye bannansi okukolereranga emirembe n’Obutebenkevu mu ggwanga, olwo Uganda egundiire mu buli ntekateeka ya nkulaakulana.
Kyabazinga William Gabula Nadyope
Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadyope Kadumbuli yeebazizza abajulizi olw’obuvumu bwebaakozesa nebafiirira eddiini, era naasaba abasoga ne bannansi bonna okukuuma ennono ya Eklezia ,kyokka neyeebaza government olwembeera esobozesezza abalamazi okutambula obulungi.
Ssentebe w’Olukiiko olutaba ab’Episikoopi era Omusumba w’Essaza lya Kiyinda Mityana Dr Anthony Zziwa alaze Obutali bumativu ku butali butebenkevu obuleeteddwa bamukwata mmundu mu ggwanga ensangi zino, ezirese bannansi bangi nga batirimbuddwa.
Ssabasumba w’essaza ekkuku erya Kampala Paul Ssemwogerere yeebazizza Omukama olw’okujuna abantube naamalawo ekirwadde ki Covid 19 ekyali kimazeeko abantu emirembe, bwatyo naasaba abakkiriza obutaterebuka olw’emize egyeyongera okutitimuka, ng’ogw’abantu abekikula ekimu okuganzagana.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza nga yakiikiridde Obwakabaka asabye abantu okutunuuliranga buli nsonga n’Obwegendereza.
Omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu avumiridde abakulembeze abawakanya okukkiriza kw’abantu mu byobufuzi ,b’agambye nti balabe ba Uganda abawedde emirimu.
Omukolo guno gwetabiddwako eyaliko omumyuka w’Omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga, Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Eng JB Walusimbi, ba Ssabepisikoopi n’Abepisikoopi ,ababaka ba parliamnment n’abantu abalala bangi abavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, n’ebweru wa Uganda.
Omukolo guno gwe gumu Eklezia kwetongolezza omukutu gwayo ogwa Television ogutuumiddwa Uganda Catholic Television UCTV
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa