Omukuumi wa kampuni y’obwannanyini eya Azzar security company eyakategerekako erinnya limu erya Ronnie, agambibwa okuba ng’alina banne bakolaganye nabo nebalumba ebbaala mwebasanze nnyiniyo nebamusaba sente, bweyeremye okuzibawa kwekumusindirira amasasi mu mutwe nebamutta.
Attiddwa ye mukyala Kisangaani Jeresy myaka 35 abadde alina ebbaala ku kyalo Katuugo Nalutuntu mu district ye Kassanda.
Kigambibwa nti abatemu bamulumbye ssaawa nga mukaaga ez’ekiro, nebamusaba sente z’abadde nazo n’essimu ye, bw’agaanye okuzibawa nebamusindirira amasasi.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala agambye nti emmundu ekozeseddwa bajizudde mu maka ga hajji Walugembe agasangibwa ku kyalo kye kimu Ronnie gy’abadde akuuma.
Kawala agambye nti olumaze okukola ettemu emmundu ajitutte n’agisonseka wansi w’emmotoka esangiddwa mu maka g’abadde akuuma, olwo ye naabulawo me banne abatanamanyika.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi