Police mu bbendobendo lya Busoga ey’obuvanjuba etandise okunoonyereza ku ttemu eribadde e Bugade mu district ye Mayuge nga bukya.
Omukuumi w’ekitongole ky’obwanannyini ekya priority one security group amangidddwa nga Enyanya Steven yaakubye muganziwe Ayayo Sarah amasasi agamusse, n’oluvannyuma naye neyetta.
Omwogezi wa police mu kitundu kino SSP Nandaula Diana agambye nti tebanategeera kituufu kivuddeko Enyanya kwenyigira mu kikolwa kino, wabula batandise okunoonyereza.
Emirambo gyombi gitwaliddwa mu ggwanika gyekebejjebwe nga n’okunoonyereza kugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kirabira Fred