Akulira ekitongole ky’ abakyala mu ssaza Kyaggwe Nakafu Esther abakanye ne kawefube w’okutalaaga amaggombolola okubangula abakyala wamu n’abavubuka abawala, ku ngeri y’okukola ebikozesebwa mu nnaku zabwe eza kasanvu (sanitary pads) n’okutumbula eby’obulamu bwabwe.
Enteekateeka eno egenderera okukendeeza ku muwendo gw’abaana abawala abawanduka mu masomero olw’ebbula ly’ebikozesebwa.
Nakafu Esther kawefube ono amutandikidde mu ggombolola ya Ssabagabo-Ngogwe, era ng’eno abakyala n’abawala okuva ku byalo Bbuga,Busiitwe,Zziba Buwooya n’ebirala basomeseddwa okutunga sanitary pads okuva mu ngoye l.
Agambye nti ababanguddwa bwe banaamala okuyiga obulungi baakutandika okubasakira ebyalaani kibayambe okwogera amaanyi mu byebakola, batuuke ne kussa erizitwala ku butale mu masomero agabali okumpi.
Abamu ku bakyala ababanguddwa nga bakulembeddwamu Namaganda Dorothy akulira abakyala mu ggombolola eno eya ssabagabo Ngogwe basanyukidde enteekateeka eno, nga bagamba nti abawala bangi babadde tebalina busobozi bugula sanitary pads eziri mu shilking 2000
Omwami wa Kabaka atwala eggombolola eno ssabagabo Kimera Rashid ategezeza nti abazadde bangi naddaala abaami baasulawo dda obuvunanyizibwa bwabwe mukuwa abaana ebikozesebwa, ekiviirideko abaana abawala okuwanduka mu masomero nga tebanetuuka, wabula nga emisomo nga gino gyakubayamba.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher