Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni Tibuhaburwa awolerezza eky’okutwala abajaasi ba UPDF mu Democratic Republic of Congo, okulwanyisa abatujju ba ADF n’agamba nti bannayuganda baakisanyukira nnyo kubanga baakoowa abatujju.
Agambye nti engeri abatujju bano gyebabadde bongedde okusensera eggwanga, omuli n’okutega bbomu okutta bannauganda abatalina musango, gavumenti ye ebadde tekyayinza kulinda wadde okwebuuza okuggyako okubanganga yonna gyebekwese.
Mwami Museseveni waviiriddeyo ku nsonga eno ng’amaloboozi geyongedde okuwanvuwa okuva mu babaka ba palamenti, nga bemulugunya ku ngeri amagye g’eggwanga gyegatwaliddwamu mu DRC nga palamenti ya Uganda tesoose kutegezebwako nti kubeera kuyisa lugaayu mu ssemateeka w’eggwanga.
Agambye nti ensonga ezirimu okuyiwa omusaayi tezirina kulinda, ekiyinza okuwa omulabe okwongera okulumba eggwanga.
Abadde asisinkanyemu abakungu b’amawanga South Sudan, Kenya, Bungereza, Norway, ne America, ey’okutema empenda z’okumalawo akayuuguumo n’entalo mu South Sudan.
Agambye nti singa South sudan tetebenkera eyongera okuteeka akazito ku by’okwerinda by’ensi ezigyetoolodde.
Ayongedde okukiggumiza nti okulonda okwamazima n’obwenkanya lyeddagala erireeta emirembe n’obutebenkevu mu nsi, kwekusaba abakulu mu South Sudan bafube okuteekateeka okulonda okulimu amazima n’obwenkanya, kimalewo akanyoolabikya k’entalo n’ekiyiwa musaayi mu ggwanga eryo.
Agambye nti sikirungi omukulembeze yenna kubeera mu buyinza ng’abwesigamizza ku kulwana n’akuyiwa musaayi
Minister w’ensonga z’obwapresident e South Sudan, Benjamin Martial, asabye amawanga g’ebunaayira okuddiriza ku nnati zebaamyumyula ku South Sudan.