
Omukulembeze wa United Arab Emirates Sheik Khalifa Bin Zayed Al Nahyan afudde ngátemera mu gyóbukulu 73.
Sheikh Kalifa Bin Zayed Al Nahyan wafiiridde nga yakafugira emyaka 18.
Yasikira kitaawe Sheikh Zayed mu 2004, era kitaawe ono yeyatandikawo United Arab Emirates.
Sheikh Kalifa abadde omu ku bafuzi abasinga obugagga munsi yonna, era alwalidde emyaka egiwerako.
Muganda we Omulangira Muhammed Bin Zayed Al Nahyan owe Abu Dhabi yábadde atambuza emirimu egisinga obungi.
Government ya United Arab Emirates erangiridde nti bagenda kukungubagira Sheikh Khalifa Bin Zayed Al Nahyan okumala ennaku 40, nga bendera zewuubira wakati wémirongooti.
Government era erangiridde ennaku ssatu okuva leero ku lwókutaano, emirimu gyonna okuli egyébitongole bya government ne kampuni zóbwannanyini giyimiriziddwa okwetoloola United Arab Emirates, okukungubagira abadde omukulembeze wabwe.