Agambibwa okuba munnamagye akakanye ku mukyala we namutematema namutta, nga kigambibwa nti amulanze gwakunoba naava awakawe.
Bino bibadde ku kyalo Bulwanyi Katulaga mu town council ye Kajjansi mu district ye Wakiso.
Omukyala atiddwa ye Nakanwagi Mastullah.
Kigambibwa nti munnaggye God Bbuule omutuuze we Lukoose mu Kajjansi Town Council nti abadde yakamala akaseera katono ng’akomyewo okuva e Somalia.
Kitegerekese nti oluvanyuma lwokukola ettemu lino yadduse nalekawo ebyambalo byamagye n’ebitambulizo bye.
Mwannyina w’omugenzi nga ye Kyakuwa John agambye nti mwannyina yali yanoba okuva ewa munamagye ono, nagenda ewa maama we ku kyalo Katulaga.
Akawungeezi kajjo mwanyina wa munnamagye yagenze naamunona nti bagende batuule munsonga ne bba munamagye God Bbuule, era naamutwala okumusisinkana.
Wabula Kyakuwa John agamba nti bazeemu kufuna mawulire nga gabategeeza nga mwannyinabwe Nakanwagi Masitulah bwatiddwa mu ntiisa.
OC Atwala police ye Katulaga Oketch Alex agambye nti batandise okunoonyereza ku ttemu lino, n’okuzuula munnamagye God Bbuule gyeyekukumye.
Bisakiddwa : Lubega Mudashiru