Omukazi eyabadde atolose mu kadduukulu ka police ye Lubigi,asindikiddwa mu kkomera e Kigo yebakeyo emyezi mukaaga.
Maurine Nabbisa wa myaka 39, mutuuze ku kyalo kye Kawoko mugombolola ya Wakiso mumyuka mu district ye wakiso.
Kooti ye Nansana yemusindise mu kkomera e kigo lwakutoloka mu kadduukulu ka police yomu Lubigi, oluvanyuma lwokukwatibwa ku bigambibwa nti yayiiridde bba amafuta mu bitundu ebyekyama namwomya namutta.
Kigambibwa nti ettemu lino yalikola nga 11/03/2022, Nabbisa bweyayiira bba amafuta amanyiddwa nga Ibrahim Ssekalagala myaka 36 n’amutta.
Nabbisa yakwatibwa naggalibwa mu kadduukulu ka police mu Lubigi,wabula eno gyeyalabiriza abasirikale natoloka.
Police egamba baamukwatira Mukono ng’abbye omwana nekigendererwa kyokumusaddaaka asobole okusiba omusango.
Omulamuzi wa kooti ento e Nansana Alyozious Natwijuka amusomedde omusango gw’okutoloka mu kadduukulu wamu n’ogwokutta omuntu.
Wabula akkiriizaako omusango gumu ogw’okutoloka mu kadduukulu, era gwegumutwazizza mu kkomera e Kigo okumalayo emyezi 6.
Omulamuzi ataddewo olunaku olwa nga 20/04/2022 lwanakomezebwawo mu kooti bamusomere omusango gw’okutta omuntu.
N’oluvannyuma bakumusindika mu kooti e Mukono awerenembe n’ogwokubba omwana.