Police e Kamuli eri kumuyiggo gw’omukyala ebbuba n’obusungu gwebitembye nakkakana ku bba namusalako ebitundu by’ekyaama.
Omukyala ono ayitibwa Namuganza Susan ow’e myaka 34, olumaze okusala bba Moses Kawubanya nabulawo, ate ye omwami addusiddwa mu ddwaliro e Kamuli ng’apooca n’ebisago.
Omwogezi wa Police e Kamuli ASP Kasadha Mike agambye nti abafumbo bano abasoowaganye batuuze ku kyalo Busaana mu gombolola ye Nabilumba e Kamuli.
Bisakiddwa: Kirabira Fred