Nalwanga Jackline atemera mu gy’obukulu 30 ku kyalo Nakabugo mu ggombolola ya Wakiso mumyuka mu district ye Wakiso y’akubiddwa amasasi agamutuddewo.
Kigambibwa nti Nalwanga okukubwa amasasi abadde akedde kugenda mu nnimiro, kwekulaba abasirikale ababadde mu ngoye za bulijjo abakedde okukola ekikwekweto ku kyalo nga bagala okukwata muliraanwa we ayitibwa Kiboneka Joseph ku nsonga ezitanategereka, olubalabe kwekukuba enduulu nebamusindirira ekyasi ekimuttiddewo.
Bba ategeerekeseeko erinnya limu erya Wasswa agambye nti mukazi we olukubiddwa ebyasi nebamuyoolawo mangu, era omulambo gwe tegunamanyibwa gyeguli.
Nalwanga Jackline alese abaana bataano.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo