Abagoba b’ebidduka ababadde basaliikiriza mu gombolola ye Lwabenge abava e Masaka okugenda e Kampala, bakiguddeko bwebasanze nga n’oluguudo lwa Katonga road olugatta district ye Gomba ku Kalungu, nga nalwo luguddemu.
Olutindo olubadde lwakazimbibwa ku luguudo olwo nalwo luguddemu era nga werubadde wafuuse kyererezi ky’amazzi.
Emmotoka eziwerako zibadde zisazeewo okukozesa oluguudo olwo, oluvannyuma lw’oluguudo olunene olwa Kampala – Masaka omugga Katonga okulusalamu e Kayabwe, era ng’emmotoka tezikyayita so ng’abamu bagamba nti olugendo lw’e Ssembabule -Maddu – Mpigi lubeera luwanvu.
Ssentebe wa District ye Gomba Geoffrey Kiviiri ategezezza nti basazeewo okuyimiriza entambula zonna mu kitundu kino okutuusa nga ekitongole kye byenguudo kibasalidde amagezi.
Allan Ssempebwa akulira eby’empuliziganya mu kitongole kya UNRA ategezezza nti mu kaseera kano ebyuma byebalina tebirina kyebiyinza kukolera nguudo zino, okutuusa ng’amazzi gano gakendedde.