• Latest
  • Trending
  • All
Omubiri gw’abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu Uganda

Omubiri gw’abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu Uganda

April 1, 2022

Abakuuma ddembe baazizza amaka ga Annet Anitah Among abadde sipiika wa parliament eye 11 – ng’ateeberezebwa okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi

May 16, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we

May 15, 2026
Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala

May 15, 2026
Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo

May 15, 2026
Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

Katikkiro Mayiga abavubuka abasibiridde entanda – abadde alambula abalimi b’emmwanyi mu Buddu mu nkola eya Situla Omutindo

May 14, 2026
Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

Okuddamu okulonda omubaka omukyala ow’e Kalangala – NUP emalirizza okukwata empapula z’abegwanyiza kaadi y’ekibiina

May 14, 2026
Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

Omulamuzi Moses Kawumi Kazibwe alondeddwa okufuuka Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga

May 14, 2026
Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

Katikkiro Mayiga yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okumwesiga namukwasa Ddamula – ajaguzza emyaka 13

May 13, 2026
Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 batandise okukuba ebirayiro – bali 529

May 13, 2026
Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

Mawokota ereese Richard Malinga ng’omutendesi omuggya – enoonya kikopo kyakuna mu mpaka z’amasaza 2026

May 13, 2026
President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

President Museveni alayiziddwa ku kisanja ekyomusanvu 2026/2031 – alangiridde nti kisanja no sleep no corruption

May 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Features

Omubiri gw’abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu Uganda

by Namubiru Juliet
April 1, 2022
in Features, News
0 0
0
Omubiri gw’abadde sipiika wa parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu Uganda
0
SHARES
276
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ku ssaawa musanvu n’eddakiika 57, leero nga 01 April,2022 omubiri gw’abadde sipiika wa Parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu ggwanga, mu nnyonyi ya Ethiopian airlines.

Omubiri gwa Jacob Oulanya bwegubadde gukomezebwawo ku kisaawe Entebbe,abakulu mu government  abakulembeddwamu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jessica Alupo, sipiika wa parliament Anita Among, Ssabalamuzi w’eggwanga Alphonse Owinyi Dollo, omumyuka wa sipiiika Thomas Tayebwa, omumyuka wa president eyawummula Edward Kiwanuka ssekandi,  ba minister n’ababaka ba parliament babaddeyo era abamu kubbo boozeza ku mmunye wamu naaboluganda lwe.

Gutuusiddwa mu kibangirizi ky’ekisaaawe ky’ennyonyi Entebbe ewatuukira abakungu, ekimanyiddwanga ki VVIP.

Abakulu mu police y’eggwanga bebagusitudde okugukwasa aba A-Plus Funeral Management.

Wabaddewo okusimba ennyiriri,mu babeby’okwerinda n’abakulu mu government, olwo omubiri negutambuzibwa ku kiwempe ekimyufu okugyayo ekitiibwa omugenzi kyabadde eweebwa mu ggwanga lino.

Ennyimba z’obuwangwa ezab’Acholi nebivuga ebyenjawulo ebigyayo ekifanaanyi kyokukungubaga  zikoolobezeddwa.

Jacob L’Okoli Oulanya mu bitiibwa by’eggwanga abadde nnamba sattu, kubanga yabadde sipiika wa parliament, songa mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza,abadde mumyuka wa ssentebe w’ekibiina mu bukiika kkono bw’eggwanga

Oulanyah yafa nga 20 march,2022 mu kibuga Seattle ekya United States of America,gyeyali atwaliddwa okujanjabibwa.

Jacob Oulanyah yaliko omumyuka wa sipiika okumala emyaka kkumi,okuva nga 2011 okutuuka 2021.

Nga 24.May 2021 lweyalondebwa ku bwa sipiika bwa parliament,wabula yafuna obukosefu era entuula z’akubirizza nga sipiika zibalirwa ku ngalo,okutuusa mukama lweyamujjuludde.

JAcob Oulanyah ye sipiika asoose okufiira mu ntebe okuva mu 1962 Uganda lweyafuna obwetwaze.

Okuva ku kisaawe e Ntebe omubiri gwa Oulanyah gukwasiddwa kampuni ya A-plus.

Okusinziira ku minister w’ensonga za president era ssentebe w’enteekateeka z’okuziika minister Milly Babalanda,omugenzi wakugibwa mu maka ga A-plus ku sunday atwalibwe mu maka ge e Muyenga

Wakusulayo okutuuka ku lwokubiri lwanaggibwayo atwalibwe mu parliament okumukungubagira.

Wakusuzibwa mu parliament gyanagibwa ku lw’okusatu atwalibwe mu kisaawe e Kololo, awategekeddwa emikolo gy’eggwamga egy’okumukungubagira n’okumusabira.

Olunagibwa e Kololo wakussibwa ku nnyonyi atwalibwe e Lubogi mu district ye Omoro ku butaka.

Olwo ku lwokutaano nga 08 April,2022 aziikibwe.

Olunaku lw’okutaano kwagenda okuziikibwa,government yalulangiridde lunaku lwakuwummula mu ggwanga lyonna.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Abakuuma ddembe baazizza amaka ga Annet Anitah Among abadde sipiika wa parliament eye 11 – ng’ateeberezebwa okwenyigira mu bulyake n’obukenuzi
  • Ababaka ba parliament ya Uganda ey’omulundi ogwe 12 bamalirizza okulayira – obunkenke busigadde kukulonda anabeera sipiika wa parliament n’omumyuka we
  • Bbingwa 2026 – Jangu wewandiise ovuganye, leeta omwana, leeta owa boda wo ebirabo bingi ddala
  • Omwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 8 – 14 June,2026 mu Lubiri e Mengo
  • Ssaabasumba Tomasz Crysa ye Mubaka wa Ppaapa omuggya mu Uganda – azze mu bigere bya Ssaabasumba Luigi Bianco

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist