Ababaka ba parliament n’abamu ku bakozi, basuze ku parliament nga bakungubagira eyali sipiika Jacob Oulanyah.
Wakumiddwawo ebyoto ng’akabonero ak’okukuma olumbe.
Parliament olunaku lulamba olwaleero erumazeeko ng’ekubaganya ebirowoozo n’okusiima emirimu gyeyakolera eggwanga lino.
Ababaka boogedde ku Oulanya ng’omuntu abadde teyeerya ntama ku bitatambula bulungi mu ggwanga, ng’obulyi bw’enguzi, omuntu abadde tasiba busungu, omuntu abadde alwanirira obukulembeze obutambulira ku mateeka,era omuntu abadde atakabanira emirembe.
Omubaka wa Pian Country ekisangibwa mu district ye Nabiratuk Achia Lemigio ayanjudde ekirowoozo nti parliament erangirire olunaku olwenjawulo lukuzibwe buli mwaka, okujjukira Jacob Oulanyah nga bwekikolebwa mu bank y’eggwanga enkulu newalala , mwebajjukirira abantu abalina ebyenjawulo byebaakolera ebitongole ebyo.
Bbo ababaka be Busoga basabye enjawukana ezaaletebwawo akalulu kobwa sipiika mu mwaka 2021, wakati wa Rebecca Alitwala Kadaga ne Jacob Oulanya zigwewo.
Sam Baka Mugabi omubaka wa Bukooli North ategezeza nti ababaka abava mu Busoga balina obubondo mu parliament bubiri, okubadde akabadde kakkiririza mu Jacob Oulanyah eyawangula Rebecca Alitwala Kadaga, naako akabadde kakkiririza mu Rebecca Alitwala Kadaga, era ono asabye ababaka banne abe Busoga bakozese ekiseera kino eky’okukungubaga baggyewo enjawukana baddeyo nga bwebaali mu kusooka.
Sarah Opendi omubaka omukyala owa district ye Tororo asabye obukulembeze bwa parliament obuggya nti bwebaba bakujjukira n’okusiima emirimu Jacob Oulanyah gyeyakolera eggwanga ne parliament, bamalewo omuze gw’ababaka abalyi b’enguzi.
Gavument ekakasiza olwaleero mu alipoota essomeddwa minister w’ebyobulamu DR Jane Ruth Aceng nti Jacob Oulanya yafudde kirwadde kya Kkookoolo.
Parliament olwaleero eyisiza ekiteeso wakati mu bamu ku babaka okukuluma nti buli mubaka aweeyo akakadde ka shillings kamu eri ensawo ya Jacob Oulanyah Education Trust Fund, eyatondeddwaawo okukungaanyizaamu ensimbi ezokuweerera abaana bomugenzi, n’abalala baabadde aweerera.
Omumyuuka wa president weggwanga Retired Maj JESSICA Alupo, alagidde ministry yebyobulamu okumaliriza okuzimba eddwaliro lya Kkookoolo mu district ye Omoro,ng’ekijjukizo kya Jacob Oulanyah.
Omulambo gwa Jacob Oulanyah olunaku olwenkya ku makya gwakujjibwa mu parliament gutwalibwe mu kisaawe e Kololo, eggwanga gyerigenda okumukungubagira.
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa y’asuubirwa okubeera omukungubazi omukulu,songa okusaba kwakukulemberwaamu Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Dr Stephen Kazimba Mugalu Mboowa