Kooti ejulirwamu mu ggwanga eyongedde okunyweza obuwanguzi bw’omubaka wa parliament Omukyala owa district ye Gomba Sylivia Nayeebale, ekikaatirizza nti Omubaka oyo yawangula ekifo ekyo mu mazima era nti yalangirirwa mumateeka.
Munnakibiina kya National Unity platform Ssentamu Betty eyavuganya ku kifo kyomubaka Omukyala owa district ye Gomba kyokka nawangulwa, obutamatira nawaabira Sylivia Nayeebale mu kooti wamu n’akakiiko kebyokulonda mu ggwanga ng’agamba nti akalulu ke kabbibwa.
Omusango gwasookera mu kooti enkulu mu district ye Mpigi kyokka kooti negusingisa Betty Ssentamu, ngemulanga okulemwa okusasula mubujuvu ensimbi ezempaaba y’omusango, gattako nokuwaayo ebiwandiiko byabajulizi ebyali bitakwaatagana bulungi mu mannya.
Betty Ssentamu teyamatira neyeyongerayo mu kooti ejulirwamu mu Kampala eyalagira omusango guddeyo mu kooti enkulu eddemu eguwulirize ngamaze okusasula mubujuvu ensimbi ez’empaabi era kooti neragira omusango guwulirwe omulamuzi omulala.
Mu April 2023, kooti enkulu e Mpigi ng’ekulirwa omulamuzi Alex Ajiiji yasingisa Betty Ssentamu omusango oluvannyuma lwa Betty Ssentamu okuwaayo obujulizi bwempapula ezaaliko ebyaava mukulonda, ng’empapula ezimu tezikwaatagana n’ezaakakiiko kebyokulonda mu ggwanga.
Kooti yalagira Betty Ssentamu aliyirire Omubaka Sylivia Nayeebale, olwo Ssentamu nataweera era neyeyongerayo mu kooti ejulirwaamu ngagamba nti omulamuzi wa kooti enkulu yalemwa okwekeneenya obulungi obujulizi, naddala obwempapula ezaaliko ebyava mu kulonda, nti era akakiiko kebyokulonda kagaana okuwa Betty Ssentamu empapula eziriko ebyava mu kulonda nga ziriko stamp.
Munsala ya kooti ejulirwaamu ekoleddwa olwaleero ngeteereddwako emikono gy’balamuzi 3 Okuli Geoffrey Kiryabwire, Muzamiru Mutangula Kibedi ne Christopher Gashirabake bategeezezza nti ensala yomulamuzi yaliny’amazima.
Kooti etegeezezza nti Betty Ssentamu yalemererwa okuwawabira akakiiko k’okulonda kawalirizibwe okuleeta ebyava mu kulonda.
Kooti eragidde Betty Ssentamu eriyirire Omubaka Sylivia Nayeebale ensimbi zonna zaasasanyizza mu kooti enkulu ne kooti ejulirwamu#
Bisakiddwa: Sserugo Patrick