Omubaka wa Kawempe North Muhammad Sseggirinya egimu ku misango egimuvunaanibwa kooti egitoowoleddeko, wabula takkiriziddwa kuyimbulwa kuva mu nkomyo.
Omulamuzi wa kooti ya Buganda road Doreen Olga Karungi akkiriza Sseggirinya okweyimirirwa ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu.
Mu musango guno abawaabi bamulumiriza nti Sseggirinya ng’ayita mu bubaka bweyateeka ku mukutu gwe ogwa face book,bwali bugenderera kukuma muliro mu bantu nga yebuuza oba nti abaali bagala okutemula Robert Kyagulanyi Ssentamu baali bamanyi kyebakola, nti era singa bakikola ekyali kiyinza okuvaamu kyali kiyinza okusinga ekyali e Rwanda mu 1994.
Omulamuzi Karungi amukkirizza okweyimirirwa n’amulagira asasule akakadde ka shs kamu ez’obuliwo,ate abamweyimiridde ababiri bassibweko akakalu ka bukadde 10 ezitali za buliwo.
Wadde nga Sseggirinya kooti eyo emuyimbudde ku misango gyo, wabula takkiriziddwa kuva mu nkomyo olw’emisango emirala egyekuusa ku ttemu ly’ebijambiya eryali mu bitundu bye Masaka mu masekati g’omwaka guno omwafiira abantu abasoba mu 30.
Gavumenti erumiriza nti Sseggirinya n’omubaka wa Makindye West Allan Ssewannyana balina kyebamanyi ku ttemu eryo, era emirundi egiwerako babadde basaba kooti ebate ku kakalu kaayo bagende bafune obujanjabi obwenjawulo nebatakkirizibwa okuva lwebakwatibwa nga betutte ku poliisi e Masaka ku nsonga z’ezimu nga 7.09.2021.
N’olwaleero mu kooti Sseggirinya tabaddeeyo abadde ayogerera ku vidiyo, asabye omulamuzi amukkirize agende afune obujanjabi obusingawo agibwe mu ddwaliro e Mulago gyali ng’agamba nti yafuuse kyakusomerako ky’abayizi abagezesebwa obusawo, wabula omukisa oguyimbulwa tagufunye.
Munnamateeka we Shamim Malende naye ategezezza kooti nti omuntu we mulwadde nnyo ali ku kitanda e Mulago gy’amaze ekiseera ekiwerako, era abasawo baamugamba nti ekigere kye ekyavunda obubonero obukiriko bulaga nti yandiba kkookolo, alina puleesa n’ensigo endwadde.
Ebyo byabadde asinziddeko okusaba Sseggirinya nga okukkirizibwa agende emitala w’amayanja afune obujanjabi obukira ku buno wabula tekisobose.