
Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana ngásinziira mu kkomera e Kigo, aweerezza abalonzi be abe Makindye West obubaka obubaagaliza amazuukira ga Yezu Kristu amalungi era agessanyu.
Mu bubaka bwe era yebazizza bannansi bonna abamusabidde, era naabasaba bongere okumuteeka mu saala awone obusibe.
Obubaka buno bussomeddwa mu ekelezia ya St Peters e Nsambya n’ekelezia endala zonna mu makindye West.
Wabaddewo akaseera akenjawulo akaweereddwayo mu kitambiro kya missa kino okusabira abakaka Allan Ssewanyana n’owa Kawempe North Sseggirinya Muhammad, n’abasibe abalala bonna abali mu makomera.
Abakkiriza ebeetabye mu kitambiro kyamazuukira kino, basabye omutonzi eyazuukidde okuva mu bafu, akwate ku balina obuyinza abaasiba omubaka waabwe bamuyimbule akomewo abaakiikirire.
Emyezi 6 egiyise government yakwata ababaka Allan Ssewanyana ne Mohammed Ssegirinya owa Kawempe North ngébalanga okwenyigira mu kutema abantu mu bendobendo erye Masaka omwafiira abantu abasoba mu 30,wabula obujulizi obubaluma tebuleetebwanga.
Mu mwezi ogwokusatu, kkooti ento e Masaka yabasindiika mu kkooti enkulu nti batandiike okuwerennemba n’emisango gyeyabaggulako okuli egy’obutemu,obutujju okugezaako okutta n’emirala.
Reverand Father Charles Ntege Lubwama, akulembeddemu ekitambiro kyemmisa eyamazuukira ku ekelezia ya St Peters e Nsambya, ajjukiza abakirisitu obutakoma kukuza bukuza lunaku lwamazuukira, wabula beefumitirize ku makulu galwo, nokubeera nessuubi wakati mu kunyigirizibwa n’okusoomozebwa okuyitirivu, nti oyo eyazuukidde mu bafu kyekikubagizo.