Police ekutte deereva ne mmotoka etomedde omu ku balamazi ababadde bagenda e Namugongo nemuttirawo.
Emmotoka ya buyonjo etomedde omulamazi ebadde kika kya Toyota Harrier UBH 186F, emutomeredde mu kitundu kye Ssanga mu district ye Kiruhura.
Atomeddwa mmotoka ye Joventa Tukahirwa wa myaka 53, abadde mutuuze we Ruhaama Kitwe mu disteict ye Ntungamo.
Omuduumizi wa police ye Kiruhura Komakech Joe agambye nti afiiridde mu kkubo nga bamuddusa mu ddwaliro ekkulu ery’e Lyantonde.
Mu kiseera kino police ekutte omugoba wa mmotoka ekoze akabenje n’emmotoka ye, akuumibwa ku police ye Ssanga Kirukura
Ssabaddamizi wa police mu ggwanga IGP Okoth Ochola alagidde abaddumizi ba police mu bitundu okuwa obukuumi n’okuwerekera abalamazi abatambuza ebigere.
Emyaka ebiri egiyise Uganda ebadde ekuza olunaku lw’abajjulizi mu ngeri eya Science, olw’obulwadde bwa COVID19 obwavirako okuyimiriza enkungaana ez’abantu abangi.
Abalamazi bakiriziddwa okwetaba ku bikujjuko by’omwaka guno,era bangi abava mu bitundu by’ewala batandiise dda okutambula, lugende okutuuka nga 03 June, nga batuuse e Namugongo ku mikolo emikulu.
Fred Enanga ayogerera police mu ggwanga atagezeza nti basuubira ebibinja by’abalamazi okweyongera obungi okuva wano munda mu ggwanga n’amawanga amalala, ebisaana okuweebwa obukuumi okwewaala ebikolwa ebiteera okutukaako mu makubo naddala obubenje
Fred Enanga asabye abalamazi abatandiise okutambula okwegendereza abantu bebatambula nabo ate n’abakuttira okubeera abagendereza nga batuuse mu kibuga Kampala, ekijjuddemu bakyala kimpadde abanyakkula amasimu n’ensawo z’abantu.